Acts 13:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okuzikiriza amawanga omusanvu mu nsi y'e Kanaani, n'abagabira ensi yaabwe ng'obusika ebbanga nga lya myaka ebikumi bina mu ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azikiriza amawanga musanvu agaabeeranga mu nsi ya Kanani, era ensi eyo n’agiwa Abayisirayiri okubeera omugabo gwabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n'abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka bina mu ataano (450).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okuzikiriza amawanga omusanvu agaali mu nsi y'e Kanaani, n'abawa ensi eyo okuba obutaka bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n'abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka ebikumi bina mu ataano.