Acts 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali nga basinza Omukama nga bwe basiiba, Mwoyo Mutuukirivu n'abagamba nti: “Munjawulire Barunaba ne Sawulo olw'omulimu gwe mbalondedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga baweereza Mukama waffe n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'agamba nti, “ Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali nga baweereza Mukama era nga basiiba, Mwoyo Mutuukirivu n'abagamba nti: “Munjawulire Barunaba ne Sawulo, bakole omulimu gwe mbayitidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga baweereza Mukama waffe n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'agamba nti Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde.