Acts 13:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo bwe yamuggyawo, n'abawa Dawudi abeere kabaka waabwe; oyo gwe yayogerako n'agamba nti: ‘Nzudde Dawudi mutabani wa Yesse, omusajja omutima gwange gwe gusiimye, alikola byonna bye njagala.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda n’amuggya ku bwakabaka, n’abuwa Dawudi, oyo Katonda gwe yayogerako obulungi nti, ‘Nnonze Dawudi, mutabani wa Yese, omusajja omutima gwange gwe gwagala ajja okukola bye njagala.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamuggyaawo oyo, n'abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng'amutegeeza nti, ‘Ndabye Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng'omutima gwange bwe gwagala, anaakolanga bye njagala byonna.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe yamuggyaawo, n'abateerawo Dawudi okuba kabaka waabwe, Katonda gwe yayogerako nti: ‘Nzudde Dawudi omwana wa Yesse, ye musajja gwe nsiima, anaakolanga byonna bye njagala.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamuggyaawo oyo, n'abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng'amutegeeza nti Ndabye Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng'omutima gwange bwe gwagala, anaakolanga bye njagala byonna.