Acts 13:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo nga tannajja, Yowanna yali ayigirizza abantu bonna aba Yisirayeli batismu ey'okubonerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okw’okwenenya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokaana bwe yasooka okubuulira nga tannaba kujja okubatizibwa okw'okwenenya eri abantu bonna Abaisiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yali nga tannatandika mulimu gwe, Yowanne yategeeza abantu ba Yisirayeli bonna beenenye babatizibwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yokaana bwe yasooka okubuulira nga tannaba kujja okubatizibwa okw'okwenenya eri abantu bonna Abaisiraeri.