Acts 13:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowanna bwe yali ng'anaatera okumaliriza ekisanja kye, n'agamba nti: ‘Nze mundowooza kubeera ani? Si ye nze, wabula waliwo omulala anvaako emabega gwe sisaanira na kusumulula ngatto za bigere bye.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Yokaana bwe yali ng’ali kumpi okufundikira omulimu gwe, yagamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Laba Ye ajja oluvannyuma lwange, n’okusaanira sisaanira na kusumulula ngatto ze.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yokaana bwe yali anaatera okukomya olugendo lwe, n'agamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Naye laba, waliwo ajja oluvannyuma lwange gwe ssisaanira kusumulula ngatto ya mu kigere kye.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Yowanne bwe yali ng'amaliriza omulimu gwe, n'agamba abantu nti: ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri oyo gwe mulindirira, wabula ye anvaako mabega, era sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yokaana bwe yali anaatera okukomya olugendo lwe, n'agamba nti Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Naye laba, waliwo ajja ennyuma wange, gwe ssisaanira kusumulula ngatto ya mu kigere kye.