Acts 13:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Basajja abooluganda, mmwe abaana b'olulyo lwa Yiburayimu, n'abalala mu mmwe abatya Katonda, ekigambo ky'okulokoka kuno ffe kyatumirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ab'oluganda, abaana b'ekika kya Ibulayimu, nammwe mwenna abatya Katonda, ekigambo eky'obulokozi buno kyaweerezebwa waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe abooluganda, bazzukulu ba Aburahamu, nammwe abalala abassaamu Katonda ekitiibwa, ebigambo bino eby'obulokozi byaweerezebwa ffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'oluganda, abaana b'ekika kya Ibulayimu, nammwe mwenna abatya Katonda, ekigambo eky'obulokozi buno kyaweerezebwa waffe.