Acts 13:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali mu Yeruzaalemu n'abakulu baabwe olw'obutamanya Yezu, n'obutategeera bigambo by'abalanzi ebisomebwa buli Sabbaato, bino baabituukiriza nga bamusalira omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abatuula mu Yerusaalemi n'abakulu baabwe bwe bataamumanya oyo newakubadde amaloboozi ga bannabbi agasomebwa buli ssabbiiti, kyebaava babituukiriza bwe baamusalira omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Yerusaalemu, awamu n'abakulu baabwe, Yesu tebaamumanya nti ye mulokozi, wadde okutegeera ebigambo by'abalanzi ebisomebwa buli Sabbaato. Kyokka baabituukiriza, bwe baasalira Yesu omusango attibwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abatuula mu Yerusaalemi n'abakulu baabwe bwe bataamumanya oyo newakubadde amaloboozi ga bannabbi agasomebwa buli ssabbiiti, kyebaava babituukiriza bwe baamusalira omusango.