Acts 13:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amala ennaku nnyingi ng'alabikira abaali bambuse naye e Yeruzaalemu okuva mu Galilaaya, kati abamujulira mu bantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abalabikira ennaku nnyingi abaayambuka naye okuva e Ggaliraaya okutuuka e Yerusaalemi, be bajulirwa be kaakano eri abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amala ennaku nnyingi ng'alabikira abo abaayambuka naye e Yerusaalemu nga bava e Galilaaya. Abo kaakano be bamumanyisa mu bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abalabikira ennaku nnyingi abaayambuka naye okuva e Ggaliraaya okutuuka e Yerusaalemi, be bajulirwa be kaakano eri abantu.