Acts 13:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kino akituukirizza eri abaana baabwe ng'azuukiza Yezu mu bafu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti: “ ‘Oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti, “ ‘Mwana wange, leero nfuuse Kitaawo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti Katonda akutuukirizza eri abaana baffe bwe yazuukiza Yesu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyokubiri nti,” “ ‘Ggwe mwana wange, nkuzadde leero.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti: ‘Oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda akutuukirizza eri abaana baffe bwe yazuukiza Yesu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli ey'okubiri nti Ggwe mwana wange, nkuzadde leero.