Acts 13:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ate okuba nti ddala yamuzuukiza mu bafu era nga takyaddayo mu kuvunda, kyeyava agamba nti: “ ‘Nzija kubawa ebitukuvu era eby'amazima bye nasuubiza Dawudi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti: “ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era kubanga yamuzuukiza mu bafu nga tagenda nate kuddayo mu kuvunda, yagamba bw'ati nti,” “ ‘Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakkalira egya Dawudi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukakasa nti Katonda yamuzuukiza, takyaddamu kufa, Katonda kyava agamba nti: ‘Ndibawa emikisa emitukuvu era egy'enkalakkalira, gye nawa Dawudi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kubanga yamuzuukiza mu bafu nga tagenda nate kuddayo mu kuvunda, yagamba bw'ati nti Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakkalira egya Dawudi.