Acts 13:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza ezzadde ly'omu budde bwe nga Katonda bw'ayagala, n'aziikibwa kumpi ne bajjajjaabe, n'avunda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza mu biro bye nga Katonda bwe yateesa, naafa n'ateekebwa eri bajjajjaabe, n'avunda:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi bwe yamala okukola emirimu Katonda gye yamuteekerateekera mu bulamu bwe, n'afa, n'aziikibwa awali bajjajjaabe, n'avunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza mu biro bye nga Katonda bwe yateesa, ne yeebaka n'ateekebwa eri bajjajjaabe, n'avunda: