Acts 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo Mutuukirivu bwe yamala okubatuma, ne bagenda e Selewukiya; ate bwe baava eyo, ne basaabala ne balaga e Kupuro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abo bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawunguka okulaga e Kupulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Barunaba ne Sawulo bwe baamala okutumibwa Mwoyo Mutuukirivu, ne baserengeta e Selewukiya, ne basaabala, ne bagenda e Kipuro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abo bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Kupulo.