Acts 13:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sinaagooga bwe yayabuka, Abayudaaya bangi n'ab'amawanga abasomi abasoma ekiyudaaya ne bagoberera Pawulo ne Barunaba; nabo ne boogera nabo, ne babakuutira banywerere mu neema ya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina bwe kyasaasaana bangi ku Bayudaaya n'abakyufu abeegendereza ne bagoberera Pawulo ne Balunabba: nabo ne boogera nabo ne babasendasendanga okunyiikirira mu kisa kya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna bwe baava mu kkuŋŋaaniro, bangi ku Bayudaaya ne ku b'amawanga amalala abasoma Ekiyudaaya ne bagoberera Pawulo ne Barunaba. Mu kunyumya nabo, Pawulo ne Barunaba ne babakuutira banywerere mu kwesiga ekisa kya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina bwe kyasaasaana bangi ku Bayudaaya n'abakyufu abeegendereza ne bagoberera Pawulo ne Balunabba: nabo ne boogera nabo ne babasendanga okunyiikirira mu kisa kya Katonda.