Acts 13:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina by'abantu, ne bakwatibwa obuggya, ne bawakanya Pawulo bye yali ayogera, ne bamuvuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abayudaaya bwe baalaba ekibiina, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, nga babivuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya bwe baalaba abantu abangi bwe batyo, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, era ne bamuvuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abayudaaya bwe baalaba ekibiina, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, nga babivuma.