Acts 13:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo ne Barunaba ne boogera nga bavumu nti: “Ekigambo kya Katonda mmwe kyali kiteekwa okusooka okubuulirwa, naye kubanga mukyesammudde, ne mwesalirawo mwennyini nga temusaanidde bulamu obutaggwaawo, kale naffe ka tudde eri ab'amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo ne Balunabba ne boogera n'obuvumu nti, “ Kyagwana okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu mmwe. Kubanga mukisindiikiriza so temweraba kusaanira bulamu obutaggwaawo, laba, tukyukira eri ab'amawanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pawulo ne Barunaba ne boogera n'obuvumu, ne bagamba nti: “Mmwe mubadde muteekwa okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mulaga mmwe mwennyini nga temusaanira kufuna bulamu obutaggwaawo, kale ka tubaleke, tugende eri ab'amawanga amalala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo ne Balunabba ne boogera n'obuvumu nti Kyagwana okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu mmwe. Kubanga mukisindiikiriza so temwiraba kusaanira bulamu obutaggwaawo, laba, tukyukira eri ab'amawanga.