Acts 13:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Omukama bwe yatulagira bw'atyo nti: “ ‘Nkutaddewo obeere ekitangaala ky'ab'amawanga, obeere obulokofu okutuusa ensi gy'ekoma.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti, “ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga, olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama yatulagira bw'ati nti, “‘Nkuteeseewo okubanga omusana gw'amawanga, Obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y'ensi.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ekyo Mukama kye yatulagira okukola bwe yagamba nti: ‘Nkutaddewo obe ekitangaala mu b'amawanga amalala, obe omulokozi w'ensi zonna.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama yatulagira bw’ati nti Nkuteeseewo okubanga omusana gw'amawanga, Obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y'ensi.