Acts 13:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'amawanga bwe baakiwulira, ne basanyuka, ne bagulumiza ekigambo kya Katonda; bonna abaali baawuliddwa okufuna obulamu obutaggwaawo ne bakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumiza ekigambo kya Katonda: bonna ne bakkiriza abaali baterekeddwa obulamu obutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amawanga amalala bwe baawulira ebyo, ne basanyuka, ekigambo kya Katonda ne bakissaamu ekitiibwa. Abo Katonda be yateekerateekera obulamu obutaggwaawo, ne bakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumiza ekigambo kya Katonda: bonna ne bakkiriza abaali baterekeddwa obulamu obutaggwaawo.