Acts 13:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baagoba e Salami, ne babuulira ekigambo kya Katonda mu sinaagooga z'Abayudaaya. Baalina ne Yowanna ng'ababayambako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya: ne babeera ne Yokaana okubaweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka e Salamisi, ne bayigiriza ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya. Baali ne Yowanne Mariko ng'abaweereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya: ne babeera ne Yokaana okubaweereza.