Acts 13:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abasomi ate ab'ekitiibwa, n'abakulu b'ekibuga, ne bawakulira Pawulo ne Barunaba ekiyigganyizo, ne babagoba mu kitundu ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab'ekitiibwa, n'abakulu ab'omu kibuga, ne bayigganyisa Pawulo ne Balunabba, ne babagoba mu mbibi zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakulu b'ekibuga n'abakazi abeekitiibwa era abajjumbizi b'eddiini, ne bayigganya Pawulo ne Barunaba, ne babagoba mu kitundu ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab'ekitiibwa, n'abakulu ab'omu kibuga, ne bayigganyisa Pawulo ne Balunabba, ne babagoba mu mbibi zaabwe.