Acts 13:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okulambula ekizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne basanga omusajja omulaguzi, omulanzi w'obulimba Omuyudaaya, erinnya lye nga ye Bariyezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baayita ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne balaba omuntu omulogo, nnabbi ow'obulimba, Omuyudaaya, erinnya lye Balisa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baayitaayita mu kizinga kyonna okutuuka e Paafo, ne basanga Omuyudaaya omulaguzi, omulanzi ow'obulimba, erinnya lye Bari-Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baayita ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne balaba omuntu omulogo, nnabbi ow'obulimba, Omuyudaaya, erinnya lye Balisa;