Acts 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali wamu n'owessaza Serugiyo Pawulo, omusajja omugezi, eyatumya Barunaba ne Sawulo nga yeegomba okuwulira ekigambo kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyali awamu n'owessaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow'amagezi. Oyo n'ayita Balunabba ne Sawulo, n'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali wamu n'omufuzi ow'ekizinga ekyo, omusajja omugezi, erinnya lye Serugiyo Pawulo. Omufuzi oyo n'ayita Barunaba ne Sawulo, ng'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyali awamu n'owessaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow'amagezi. Oyo n'ayita Balunabba ne Sawulo, n'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.