Acts 13:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Elima omulaguzi, anti ge makulu g'erinnya eryo, n'abawakanya ng'ayagala okuwugula owessaza ku kukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Eruma omulogo, kubanga erinnya lye bwe livvuunulwa, n'awakana nabo, ng'ayagala okukyamya owessaza mu kukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Eluma, amakulu nti omulaguzi, n'abawakanya ng'ayagala omufuzi aleme kukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Eruma omulogo (kubanga erinnya lye bwe livvuunulwa) n'awakana nabo, ng'ayagala okukyamya owessaza mu kukkiriza.