Acts 14:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwatuuka, ne bayingirira wamu mu sinaagooga y'Abayudaaya mu Yikoniyo, ne bayigiriza, ggwe wamma abantu nkumu mu Bayudaaya ne mu Bagereeki ne bakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamu mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pawulo ne Barunaba bwe baatuuka mu Yikoniyo, era ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne bayigiriza. Abantu bangi nnyo, Abayudaaya n'Abayonaani, ne bakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamu mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani.