Acts 14:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina bwe kyalaba Pawulo ky'akoze, ne kireekaanira waggulu mu Lulikawoniya nti: “Balubaale bazze gye tuli mu nfaanana y'abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti, “ Bakatonda basse gyetuli nga bafaanana abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekibiina ky'abantu bwe kyalaba Pawulo ky'akoze, ne kireekaana n'eddoboozi ery'omwanguka mu lulimi Olulikoniyo nga kigamba nti: “Balubaale basse gye tuli nga bafaanana ng'abantu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda basse gye tuli nga bafaanana abantu.