Acts 14:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabona wa Zewo eyali asula ebweru w'ekibuga n'aleeta ente ennume n'emige gy'ebimuli ku miryango ng'ayagala okuweereza wamu n'abantu ekitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona wa Zeewo, eyalina essabo mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ku nzigi z'ekibuga ente n'ebimuli eby'okubambika, ng'ayagala abantu bonna bamwegatteko okutambira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina.