Acts 14:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abasajja, lwaki mukola ekyo? Naffe tuli bantu ab'enkula ye emu nga mmwe. Tubabuulira amawulire amalungi nti muve ku bino omutali kantu, mudde eri Katonda omulamu eyatonda eggulu, ensi, ennyanja na byonna ebirimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bagamba nti, “ Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bannaffe, lwaki mukola ebyo? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe, ababaleetedde Amawulire Amalungi, mulyoke muleke ebyo ebitagasa, mudde eri Katonda Nnannyinibulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja, ne byonna ebibirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bagamba nti Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu: