Acts 14:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
sso era ekimujulira teyakireka kubulawo, kubanga yakola ebirungi, n'abawa enkuba okuva mu ggulu n'emyaka egy'ebyengera; emitima gyammwe n'agijjuza emmere n'essanyu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n'ebiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka teyeekweka. Bulijjo yeeyolekeranga mu birungi by'akola, gamba abatonnyeseza enkuba, abaza ebibala byammwe mu biseera byabyo, abawa emmere, era ajjuza emitima gyammwe essanyu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu.