Acts 14:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo ne wajjayo Abayudaaya ab'omu Antiyokiya ne Likawoniya, ne bafukuutirira abantu, ne bakuba Pawulo amayinja, ne bamukulula, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga nga balowooza nti afudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayudaaya abamu ne bava e Lisitura ne Yikoniyo, ne bafukuutirira abantu, ne bakuba Pawulo amayinja. Ne bamuwalula, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.