Acts 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza, ne babawakulira ab'amawanga, ne babasindika okukambuwalira abooluganda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abayudaaya abamu abaagaana okukkiriza, ne bassa omutima omubi mu b'amawanga amalala okukyawa abakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda.