Acts 14:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okuyigiriza ekibuga ekyo Evangili, nga bafudde bangi abayigirizwa, ne baddayo e Lisitura n'e Yikoniyo n'e Antiyokiya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamala okubuulira Enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo ne Barunaba ne bategeeza abantu mu Derube Amawulire Amalungi, ne bafuna abayigirizwa bangi. Olwo ne baddayo mu Lisitura ne mu Yikoniyo, ne mu Antiyookiya eky'e Pisidiya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamala okubuulira enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya,