Acts 14:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga banyweza emyoyo gy'abayigirizwa, nga bwe babakuutira okunywera mu kukkiriza; kubanga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda tetulema kulaba nnaku nnyingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga banyweza emyoyo gy'abayigirizwa, era nga babakuutira banyweze okukkiriza kwabwe. Ne babagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu bizibu bingi okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.