Acts 14:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okubalondera abakadde mu buli Ekleziya, n'okwegayirira nga bwe basiiba, ne babakwasa Omukama gwe bakkiriza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okuteeka abakulembeze mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo, n'okusinza Katonda era nga bwe basiiba, ne babakwasa Mukama gwe bakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza.