Acts 14:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo we baasaabalira ne balaga mu Antiyokiya, gye baali bakwasiddwa eneema ya Katonda okukola omulimu gwe baatuukiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bavaayo ne bawunguka ne batuuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baavaayo, ne basaabala ne baddayo mu Antiyookiya, mu kusooka bannaabwe gye baabakwasiza Katonda abayambe, bwe baali nga bagenda okutandika omulimu guno, gwe baali baakamaliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza.