Acts 14:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya Ekleziya, ne babanyumiza ebikulu Katonda bye yali akoze nabo, era n'ab'amawanga nga bwe yali abagguliddewo oluggi lw'okukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuukayo, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa, era nga bw'asobozesezza ab'amawanga amalala okukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza.