Acts 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo ne bamalayo ebbanga ddene, ne babayigiriza Omukama n'obuvumu, naye yennyini eyakakasa ekigambo ky'eneema ye ng'abawa emikono gyabwe ne gikola obubonero n'ebyamagero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo ne Barunaba ne bamalayo ebbanga ddene nga bayigiriza n'obuvumu ebya Mukama. Era Mukama n'akakasanga bye bayigiriza ku kisa kye, ng'abakozesa ebyewuunyo n'ebyamagero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe.