Acts 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ab'amawanga wamu n'Abayudaaya ne beekobaana n'abakulu baabwe okubakuba amayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'amawanga amalala n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe, ne beekoba okulumba abatume, n'okubakuba amayinja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja,