Acts 15:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ne wajjawo abamu abakkirira nga bava mu Buyudaaya, ne bayigiriza abooluganda nti: “Bwe mutatayirirwa ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne wajja abantu abamu abaava mu Buyudaaya ne bayigiriza abooluganda nti, “Ssinga temukomolebwa ng’akalombolombo ka Musa bwe kali temuyinza kulokolebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne bayigiriza ab'oluganda nti, “ Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu abamu ne bava e Buyudaaya, ne bajja mu Antiyookiya, ne bayigiriza abooluganda nti: “Bwe mutakomolebwa ng'etteeka lya Musa bwe liragira, temuyinza kulokolebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne bayigiriza ab'oluganda nti Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.