Acts 15:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno lwaki kati mukema Katonda nga musiba abayigirizwa ekikoligo mu bulago bajjajjaffe kye bataasobola naffe ffennyini kye tutayinza kwetikka?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano, lwaki mwagala okukema Katonda nga mukakaatika ekikoligo mu bulago bw’abayigirizwa, kye mumanyi nga bajjajjaffe kyabakaluubirira era naffe kitukaluubirira okwetikka?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano mukemera ki Katonda, okuteeka ekikoligo mu bulago bw'abayigirizwa bajjajjaffe kye bataayinza kutwala newakubadde ffe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano lwaki mukema Katonda ng'abakkiriza mubatikka emigugu, bajjajjaffe wadde ffe gye tutaasobola kwetikka?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano mukemera ki Katonda, okuteeka ekikoligo mu bulago bw'abayigirizwa bajjajjaffe kye bataayinza kutwala newakubadde ffe?