Acts 15:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olukiiko lwonna ne lusiriikirira; ne bawuliriza Barunaba ne Pawulo nga bateetula obubonero n'ebyewuunyo Katonda bye yabakoza mu b'amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kyonna ne kisiriikirira ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza eby’amagero n’obubonero Katonda bye yabakozesa nga bali ku mulimu gwe mu baamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina kyonna ne kisirika; ne bawulira Balunabba ne Pawulo nga bannyonnyola obubonero n'eby'amagero byonna Katonda bye yabakozanga mu mawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bonna abaali bakuŋŋaanye, ne basirika, ne bawuliriza Pawulo ne Barunaba nga babategeeza ebyewuunyo n'ebyamagero Katonda bye yabakozesa mu b'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina kyonna ne kisirika; ne bawulira Balunabba ne Pawulo nga bannyonnyola obubonero n'eby'amagero byonna Katonda bye yabakozanga mu mawanga.