Acts 15:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simewoni anyumizza nga Katonda bwe yasooka okukyalira ab'amawanga alondemu abantu olw'erinnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Simooni abategeezezza ng’okusookera ddala Katonda bwe yakyalira Abaamawanga ne yeeronderamu abo ab’okuweesa erinnya lye ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Simyoni annyonnyodde Katonda bwe yasooka okutunuulira amawanga okuggiramu erinnya lye abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Simooni annyonnyodde nga Katonda bwe yasooka okulaga nti alumirwa ab'amawanga amalala ng'abalondamu okuba ababe ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Simyoni annyonnyodde Katonda bwe yasooka okutunuulira amawanga okuggiramu erinnya lye abantu.