Acts 15:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oluvannyuma ndikomawo ne nzimba buggya weema ya Dawudi eyagwa; ndiddaabiriza ebifulukwa byayo, ndigizzaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Oluvannyuma lwa bino ndikomawo, ne nziddaabiriza ennyumba ya Dawudi eyagwa. Ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa. Ndigizaawo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“‘Oluvannyuma lw'ebyo ndikyuka, Ndizimba nate eweema ya Dawudi eyagwa; Okumenyeka kwayo ndikuzimba nate, Era ndigigolokosa:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Ebyo bwe biriggwa, ndidda, ne nzimba ennyumba ya Dawudi eyagwa. Ndigizimba mu kifo we yali, ngizzeewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo ndikyuka, Ndizimba nate eweema ya Dawudi eyagwa; Okumenyeka kwayo ndikuzimba nate, Era ndigigolokosa: