Acts 15:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyenva ŋŋamba nti tuleme kuteganya b'amawanga abo abazze eri Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kyenva nsalawo nti, Tetusaana kutikka baamawanga abakkiriza Katonda mugugu munene nga tubawaliriza okukwata obulombolombo bwaffe obw’Ekiyudaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kyenva nsalawo tuleme okuteganya abava mu mawanga okukyukira Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kyenva ŋŋamba nti tuleme kuteganya ba mawanga malala abakyuka ne badda eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva nsalawo tuleme okuteganya abava mu mawanga okukyukira Katonda;