Acts 15:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'okusitukawo obutakkaanya n'empaka, bano bombi, Pawulo ne Barunaba n'abamu ku balala ne batumibwa bambuke e Yeruzaalemu eri Abatume n'abakadde ku kigambo kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo ne Balunabba ne bawakana nnyo nabo ku nsonga eyo ne kisalibwawo nti Pawulo ne Balunabba n’abamu ku bakkiriza ab’omu Antiyokiya, batwale ensonga eyo eri abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe waali empaka ennyingi n'okwawukana kw'endowooza wakati wa Pawulo ne Balunabba, ku luuyi olumu, n'abo abaava e Buyudaaya, ne balagira Pawulo ne Balunabba n'abalala ku bo okugenda e Yerusaalemi eri abatume n'abakadde olw'empaka ezo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo ne Barunaba bwe baawakana ennyo nabo, ne kisalibwawo nti Pawulo ne Barunaba n'abamu ku bakkiriza ab'omu Antiyookiya, bagende e Yerusaalemu eri abatume n'abakulembeze b'abakkiriza, babalabe ku nsonga eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)