Acts 15:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula tubawandiikire, tubagambe beewale okwejaajaamya n'ebiwongere balubaale, n'eby'obukaba, n'ensolo entuge ko n'omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula tubawandiikire tubategeeze beewale okulya ennyama eya ssaddaaka eweebwayo eri bakatonda abalala, beewale obwenzi n’okulya ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era beewale okulya n’omusaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tubawandiikire beewalenga obugwagwa bw'ebifaananyi, n'obwenzi, n'ebitugiddwa, n'omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula tubawandiikire, tubategeeze baleme kulya kintu na kimu ekiweereddwayo eri balubaale, beewale obwenzi, era baleme kulya nsolo zitugiddwa, wadde okulya omusaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye tubawandiikire beewalenga obugwagwa bw'ebifaananyi, n'obwenzi, n'ebitugiddwa, n'omusaayi.