Acts 15:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatume n'abakadde n'Ekleziya yenna ne basiima okulonda mu bo abasajja, babatume mu Antiyokiya, bagende ne Pawulo ne Barunaba. Ne batuma Yuda ayitibwa Barusabba ne Sila, abasajja abakulu mu booluganda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa n’abooluganda bonna mu Kkanisa ne bateesa okutuma ababaka bagende ne Pawulo ne Balunabba mu Antiyokiya okubategeeza kye basazeewo. Abasajja abaalondebwa nga bakulembeze mu Kkanisa baali: Yuda (era gwe bayita Balusaba) ne Siira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bakisiima abatume n'abakadde wamu n'ekkanisa yonna okulonda abantu mu bo n'okubatuma e Antiyokiya ne Pawulo ne Balunabba; Yuda ayitibwa Balusaba ne Siira, abantu abakulu mu b'oluganda:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abatume n'abantu abakulu, awamu n'ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, ne basalawo okwerondamu ababaka babatume mu Antiyookiya, bagende wamu ne Pawulo ne Barunaba. Ne balonda Yuda ayitibwa Barusabba, ne Siila, abasajja abakulu mu booluganda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bakisiima abatume n'abakadde wamu n'ekkanisa yonna okulonda abantu mu bo n'okubatuma e Antiyokiya ne Pawulo ne Balunabba; Yuda ayitibwa Balusaba ne Siira, abantu abakulu mu b'oluganda: