Acts 15:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne babakwasa ebbaluwa eno, nti: “Abooluganda, Abatume n'abakadde, eri abooluganda Abaamawanga abali mu Antiyokiya, ne mu Siriya ne mu Silisiya, tubalamusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baweebwa ebbaluwa gye baatwala ng’esoma bw’eti: Ffe abatume, n’abakadde b’ekkanisa, Eri abooluganda, mu Antiyokiya yonna ne Siriya ne Kirukiya: Abooluganda tubalamusizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bawandiika ne bagikwasa mu mikono gyabwe nti, “ Abatume n'ab'oluganda abakadde tulamusizza ab'oluganda abali mu Antiyokiya ne Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babakwasa ebbaluwa egamba nti: “Ffe baganda bammwe abatume n'abantu abakulu, tubalamusizza mmwe abooluganda abatali Bayudaaya, ab'omu Antiyookiya ne Siriya ne Kilikiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bawandiika ne bagikwasa mu mikono gyabwe nti Abatume n'ab'oluganda abakadde tulamusizza ab'oluganda abali mu Antiyokiya ne Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga: