Acts 15:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twawulira ng'abamu mu ffe babeeraliikirizza olw'ebigambo bye baayogera, ne batabangula emitima gyammwe, sso nga tetubalagiranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tuwulidde nti abamu ku booluganda baava wano ne bajja eyo nga si ffe tubatumye, ne boogera nammwe ebigambo ebyabatabulatabula mu kukkiriza kwammwe ne bibakeŋŋentereza emitima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga tuwulidde nti Abantu abaava ewaffe baabasasamaza n'ebigambo nga bakyusa emmeeme zammwe, be tutalagiranga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuwulidde nti waliwo abamu mu ffe abajja ne babateganya olw'ebigambo bye baabagamba, sso nga ffe tetubatumanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tuwulidde nti abantu abaava ewaffe baabasasamaza n'ebigambo nga bakyusa emmeeme zammwe, be tutalagiranga;