Acts 15:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwewale bye bawongedde balubaale, n'omusaayi, n'ensolo entuge, era n'obukaba. Ebyo bwe munaabyewala, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwewalenga ennyama ettiddwa olw’okuweebwayo eri bakatonda abalala, mwewalenga n’okulya omusaayi, era n’ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era mwewalenga obwenzi. Bwe muneegendereza ne mwewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n'omusaayi, n'ebitugiddwa, n'obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mwewale okulya bye batambiridde balubaale, era mwewale okulya omusaayi wadde ensolo etugiddwa, era mwewale obwenzi. Bwe muneewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n'omusaayi, n'ebitugiddwa, n'obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba.