Acts 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekleziya n'ebasiibula, ne basalira mu Fenisiya ne Samariya, nga bwe battottola ng'ab'amawanga bwe bakyuse, ne basanyusa nnyo abooluganda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababaka ne bakwata ery’e Yerusaalemi, ne bayimirirako mu kibuga ky’e Fayiniikiya n’e Samaliya okukyalira abakkiriza mu bibuga ebyo n’okubategeeza ng’Abamawanga bangi bwe baakyuka ne bakkiriza. Ebigambo ebyo ne bisanyusa nnyo abooluganda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abo bwe baamala okusibirirwa ab'ekkanisa ne bayita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga bannyonnyolera ddala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyusiza ddala ab'oluganda bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baamala okusibirirwa ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne bagenda. Ne bayita mu Foyinikiya ne mu Samariya, nga bagenda bannyonnyola ng'ab'amawanga amalala bwe bakyuse ne bakkiriza Katonda. Abooluganda bwe baawulira ebyo, ne basanyuka nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abo bwe baamala okusibirirwa ab'ekkanisa ne bayita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga bannyonnyolera ddala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyusiza ddala ab'oluganda bonna.