Acts 15:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo ne Barunaba n'abalala bangi ne basigala mu Antiyokiya nga babayigiriza era nga basomesa ekigambo ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo ne Balunabba ne babeera mu Antiyokiya okumala ebbanga nga bakolera wamu n’abalala nga babuuliira Enjiri era n’okuyigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Pawulo ne Balunabba ne balwayo mu Antiyokiya nga bayigirizanga era nga babuuliranga ekigambo kya Mukama waffe wamu n'abalala bangi era.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo ne Barunaba ne bamala ekiseera mu Antiyookiya ne bannaabwe abalala, nga bategeeza era nga bayigiriza abantu ekigambo kya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Pawulo ne Balunabba ne balwayo mu Antiyokiya nga bayigirizanga era nga babuuliranga ekigambo kya Mukama waffe wamu n'abalala bangi era.